Poliisi y’e Apac ekutte omuwala atemera mu gy’obukulu 19 ku by’okuziika omwana gw’abadde yakazaala nga mulamu.

Omwana eyaziikiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo yabadde mulenzi ng’alina emyezi 2 ku kyalo Awiri mu ggombolola y’e Chegere mu disitulikiti y’e Apac.

Okusinzira ku batuuze abagaanye okwatuukiriza amannya gaabwe, munnaku 3 eziyise, abazadde b’omuwala bagaana okuddamu okumuwa emmere, olw’okuzaala musajja gwe bagaamba nti musiru.

Patrick Okello omu ku batuuze agamba nti embeera eyo obutafuna kya kulya, yasindikirizza omuwala okudduka awaka era yagenze okudda akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ng’omwana amaze okumuziika.

Mu kwewozaako, omuwala agambye nti abazadde okumusuulirira y’emu ku nsonga lwaki yaziise omwana we.

Wabula akulira okunoonyereza ku buzzi bw’emisango ku Poliisi y’e Apac Catherine Eunice Agwang, agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.

Agamba nti, balina okuddukira mu kkooti, okubakkiriza okuziikula omulambo n’omukyala okumwekebejja obwongo ku by’okutta omwana we.

Omuwala mu kiseera kino akuumibwa ku kitebe kya Poliisi ya Apac ku misango gy’okutta omuntu.