Kyaddaki omuyimbi Lydia Jazmine avuddemu omwasi ayogedde amazima lwaki muyimbi munne Rema Namakula agaanye okumuyita ku mukolo gwe ogw’okwanjula bba Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde olunnaku olw’enkya ku Lwokuna e Nabbingo ku lwe Masaka.

Ku mukolo, Rema ayise abayimbi bangi nnyo kyokka Jazmine talina kaadi emutwala era naye alina kubirabira ku Ttiivi oba emitimbagano gya yintanenti omuli Face Book.

Wabula Jazmine agamba nti, “ebigambo by’abantu bibadde bingi era Rema tasobola kumpita kuba ayinza okuba munyivu nnyo naye nze ndi musanyufu nti bambi afunye omusajja omulala gwayagala era nze mwagaliza obufumbo obulungi“.

Mu kiseera ng’obufumbo bwa Rema ne Kenzo buyuuga, ebigambo bibadde byogerwa nti Kenzo ali mu laavu ne Jazmine wadde tewali muntu yenna alina bukakafu kyokka waliwo enjogera egamba nti ‘awali omukka tewabula muliro’, kisoboka bulungi nnyo Kenzo okwagala Jazmine kuba tewali kigaana.

Mungeri y’emu agambye nti abantu balina eddembe lyabwe okwogera kyokka tewali ayinza kumwawula ne Kenzo kuba mukwano gwe nnyo ate balina ebintu bingi nnyo ebibagata omuli okuba nti bonna bayimbi ate bavudde wala nnyo naye.


READ  MC Kats akutudde Eddy Kenzo omutima, amugambye ekigambo ekisanyalazza omutima gwa waaya n'okwejjusa lwaki yakikola