Omuyimbi Eddy Kenzo munyivu nnyo olwa Dr. Hamzah Ssebunya okukiriza okumwanjula mu bazadde olunnaku olwaleero e Nabbingo ku lwe Masaka nga tanaba kumusisinkana.

Rema agenda kwanjula Dr. Ssebunya mu bazadde era Poliisi n’amaggye biyiriddwa mu bungi okutangira abakozi b’effujjo.

Wabula sabiti ewedde, Kenzo bwe yali ku NBS TV, yategeeza nti yandyagadde okusisinkana Dr. Hamzah nga tebanaba kumwanjula mu bazadde kuba yamutwalira omukyala n’omwana era abadde alina okumukwasa obuvunaanyizibwa mu butongole.

Mu kiseera kino tewali mukisa gwonna Kenzo okusisinkana Hamzah kuba omukolo gwa leero, Kenzo ali mu kibuga Dubai kuba alina ekivvulu olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano ate Hamzah bamulindiridde e Nabbingo, Rema okumwanjula mu bazadde.

Vidiyo!