Omuyimbi Mathias Walukagga naye avuddeyo ku nsonga ya Rema Namakula okusuulawo Eddy Kenzo ku lwa Dr. Hamzah Ssebunya.

Nga 14, November, 2019, Rema yayanjudde bba Dr. Hamzah mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka era mu kiseera kino bali kulya bulamu ku Chobe Safari Lodge.

Wabula Walukagga ku nsonga za Rema okufuna omusajja omulala agamba nti, “mwagaliza mirembe lwakuba bijja kumutawanyamu kubanga, omanyi omuyimbi yetaaga nabeera ne muyimbi munne kuba ffe tumanyi ebizibu byaffe kati okugyako ng’amateeka g’omusawo ganaakola Rema nagagondera naye kati bakyali mu laavu yaabwe tewali asobola kulaba nsobi ya munne mu kiseera kino, asobola n’okuwaabira ng’oyogedde ku Doctor”.

Mungeri y’emu agambye nti, “Rema yeetadde mu kkomera, she took her self in the prison kubanga engeri gyavudde eno ewa Kenzo nageenda, kati ensi etandiise okumulondoola, avudde ewa Kenzo nageenda ewa Hamzah awangaddeyo?. Hamzah singa amisitulitinga Rema, alina kuguma kubaanga ensi ereme kumwogerako, alina okugumira buli kimu oba bamusazeeko matu oba bigere alina kuguma kubaanga singa avaayo ensi egenda kugamba nti olabye tetwabagamba“.

Ebigambo bya Walukaga biraga nti Rema ali mu kkomera mu kiseera kino mu bufumbo bwa Dr. Hamzah kuba alina okulaga ensi nti musanyufu, ekigenda okuwa omukisa omusajja okumutulugunya mu mbeera yonna.
Wabula Eddy Kenzo ye alina mu ssannyu kuba alinze okulaga ensi lwaki yasuulawo Rema wadde mukyala alabika bulungi.