Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti ye mwetegefu okudda mu bigere bya Rema Namakula mu bufumbo bwa Eddy Kenzo singa afuna omukisa.
Mu Uganda, bangi ku bawagizi ba Kenzo bagamba nti Jazmine y’omu ku bawala mu Uganda abalina ebisanyizo okudda mu bigere bya Rema kuba alabika bulungi, ayimba bulungi, alina empisa ate asobodde okukuuma omutindo gwe mu kisaawe ky’okuyimba.

Jazmine asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Instagram okulaga nti ye mukyala tayogera nnyo, alina kweyambisa bikolwa, “I Don’t Talk Too Much. I Love To Act More“.

Okubyogera, abadde ayambadde akagoye akalaga omutima gw’ebbeere n’ethambi eryamyuka mu ngeri y’okusindika sigino eri abasajja abalala omuli ne Kenzo kuba naye ali ku muddaala gwa banoonya,