Omulamuzi wa kkooti enkulu mu Kampala Vicent Okwanga alangiridde olunnaku olw’enkya ku Lwokutaano nga 22, November, 2019, abawabuzi ba kkooti, okuwabula ku ky’okusingisa emisango abantu 8 abakwatibwa ku misango gy’okutta Isaac Kalanzi n’okubba emmotoka ye.

Abavunaanibwa kuliko Serwanga Alex, Okongo Julius, Kaliisa Ronald, Masinde Michael, Serunjogi Geoffrey n’abalala basatu (3) nga bali ku misango gy’okutta Kalanzi nga 21, Ogwokutaano (May), 2015 e Kajjansi mu disitulikiti y’e Wakiso n’okubba emmotoka ye ekika Ipsum namba AUW 342W.

Okusinzira ku bujjulizi mu kkooti, abasajja baali babiri (2) nga bakutte bayibuli mu ngalo ne baggya Kalanzi ku siteegi e Namugongo okubatwala ku kisaawe Entebbe nga bagamba nti bagenda kubuulira njiri mu ggwanga erya Nigeria.

Kigambibwa webatuuka e Kajjansi ne bamutegeeza Kalanzi  nti baliko Pasita omulala gwe bageenda okukima kyokka gye baamuttira.

Mu kkooti, omulamuzi asabye abawabuzi ba kkooti okusinzira ku bujjulizi obuleteddwa mu kkooti, okuwabula oba abakwatibwa, kigwanidde okubasingisa emisango gy’okutta n’okubba.

Wabula bonna abaakwatibwa, begaana emisango gyonna omuli okwenyigira okutta Kalanzi ssaako n’okubba emmotoka ye.

Omulamuzi Okwanga alindiridde olunnaku olw’enkya okuwabulwa ku ky’okutta Kalanzi.