Omukyala Zari Hassan alaze nti amaliridde okulwanyisa enkanyanya mu ffeesi n’omubiri gwonna mu mbeera yonna kuba endabika y’omukyala kye kitiibwa kye.

Zari agamba nti yazaalibwa nga 23, September, 1980 e Jinja era mbu alina emyaka 38 kyokka bangi ku mikwano gye bagamba nti ali mu myaka 40 n’okudda waggulu.

Mu kiseera kino, yakazaala abaana bataano (5) kyokka mukyala alabika bulungi nnyo.
Agamba nti abakyala okweyambisa ebizigo ebikyamu, okulya obubi, okulwawo okwebaza zezimu ku nsonga lwaki bakaddiwa nga bakyali bato.

Zari okulwanyisa enkanyanya, asobodde okweyambisa aba “27pinkx_beauty_bar” okumukolako omubiri gwonna okusobola okwekuumira ku mutindo.