Ssaabasajja Kabaka yeetabye mu kusaba okw’okujjukira n’okwebaza Katonda olw’obulamu n’obuweereza bwa Ssekabaka Edward Muteesa II mu Lutikko e Namirembe.
Kati giweze emyaka 50 bukya Ssekabaka Edward Muteesa II akisa omukono.


Ssaabasajja Kabaka agguddewo ekijjukizo kya Ssekabaka Muteesa II mu Lutikko e Namirembe okumujjuukirirako emirimu gyeyakolera Ekanisa, Obuganda ne Uganda.


Omulangira Kassim Nakibinge atenderezza Muteesa II olw’okuba omuzira bweyagaana ensimbi abazungu zebaali bamuwa ave ku nsonga z’eggwanga lye.


Katikkiro asabye abakulembeze ab’omulembe guno okuteekawo enkulaakulana eziyamba abantu okufaananako Ssekabaka Muteesa II bweyakola enteekateeka z’okuzimba amalwaliro, amasomero, enguudo wamu n’okutumbula embeera z’abantu.