Ssentebbe w’ekyalo Kiyirikiti – Nyendo mu disitulikiti y’e Masaka akwatidwa lubona mu kaboozi ne muk’omusajja.

Ssentebe ategerekeseeko erya Ndawula asangiddwa yeerigomba ne Hadijja Nannyonga muka Abdul Nkoba.

Nkoba nga naye mutuuze ku kyalo Kiyirikiti agamba nti mukyala we Nannyonga amulinamu abaana bataano (5) era baagattibwa nga 8, September, 2001.

Nkoba agamba nti ssentebbe okwenda ku mukyala we, kimulumye nnyo kuba y’omu ku bakulembeze ku kitundu abalina okulambika abantu engeri gye bateekeddwa okweyisaamu.

Ssemaka Nkoba musajja muvubi ku bizinga era y’emu ku nsonga lwaki ssentebbe kimwanguyidde okusigula mukyala we.

Okusinzira ku batuuze, Nkoba ng’ali wamu n’aba LDU baakonkonye ssentebe ne bamutegeeza nga bwe balina emisango beetaaga buyambi bwe kyokka n’abategeeza ng’obudde bwe bukyali bwa kiro wabula ne balemerako okutuusa lwe yapondoose n’aggulawo.

Amangu ddala Nkoba yatabukidde ssentebbe okudda ku mukyala we okwenda era omukyala yasangiddwa mu kisenge ng’ali bukunya.

Ssentebbe yatwaliddwa ku Poliisi y’e Masaka ku misango gy’obwenzi era Poliisi etandiise okunoonyereza.