Kyaddaki omuyimbi Grenade yetonze ku bigenda mu maaso mu kiseera kino ku mitimbagano gya yintanenti mu ggwanga lyonna.
Enkya ya leero, Namwandu w’omuyimbi AK47, Nalongo Maggie afulumizza akatambi akalaga nti Drenade y’omu ku bannayuganda abalya ebisiyaga.


Bwe yabadde ayogera ku nsonga ze ne Grenade, yagambye nti, “Grenade yamugamba nti God’s plan yamuwamba ne bamusibira mu room abavubuka babiri (2) ne bamusobyako kyokka bwe namutwala mu offiisi wa looya wange okumugyako sitetimenti, Grenade yatandikirawo okwebuzabuza“.
Mungeri y’emu yagambye nti yafuna amawulire nga Grenade ali ne Eddy Kenzo ssaako ne Hamonize okuva mu ggwanga erya Tanzania mu kibuga Dubai mu ‘Room’ emu bali mu kulya bisiyaga, “Grenade bwe yali e Dubai baasula mu Room emu abantu basatu okuli Kenzo, Hamonize ne Grenade era nga balya bisiyaga“.

Ku bya Grenade okufuna ekibiina ekirala ekyamusayininze okutumbula talenti y’okuyimba kwe, Nnalongo Maggie yagambye nti, “Grenade nkukoledde buli Kimu mbadde nkwambaza, nkuliisa, nkubeeredewo mubintu bya Sk Mbuga, nkusabidde omukisa otambuleko, nkubeeredewo mubintu bya God’s plan nkuyiriddewo omubiri mu buli Kimu naye nkizudde tolina magezi“.

Eddoboozi lya Nnalongo

Wabula Grenade naye avuddeyo ku bigenda mu maaso mu kiseera kino era agambye nti, “Bampita Grenade official era njagala okusooka kwetondera olw’ebintu ebigenda mu maaso ku Social Media, njagala kusooka kwetondera abantu bonna bekikutteko, abantu abalumiddwa ba fun bange n’omuntu yenna ng’erinnya lyo lyayogeddwako mu bino ebintu ebigenda mu maaso ku Social Media nze nga nze omuntu simanyi nnyo kwogera era sigenda kugenda mu ntalo za kwogera kuba nze simanyi kwogera naye nga njagala okutwala obuvunaanyizibwa bunno n’omukisa gunno okwetondera buli muntu yenna eyawulikise ku social Media mu zino saga ezigenda mu maaso mwena njagala okutwala omukisa okubetondera. Bino byonna ebyabaddewo, nze nina emyaka 21 ndi mwana muto naye njagala okwetondera abantu bonna naye nga njagala kubagamba nti byonna ebyabaddewo ensonga zavudde ku mukwano, sigenda kugenda nnyo mu details ku byaliwo naye nga zavudde ku mukwano“.

Mungeri y’emu agambye nti, “waliwo reason lwaki nasayininze ne Campany empya kubanga bingi byembadde simannyi, nsobi nyingi nnyo zenkoze gyenvudde yonna naye bannange, nsaba nkunsonyiwa“.

Eddoboozi lya Grenade