Omuyimbi Eddy Kenzo alaze nti wadde mukyala we Rema Namakula yafuna dda omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya, tagenda kumwerabira.

Mu Uganda, abasajja bangi singa mukyala we afuna omusajja omulala ne baawukana, bangi bakyayira ddala abakyala obulamu bwabwe bwonna n’abaana kyokka Kenzo alaze nti ye musajja wanjawulo nnyo.

Rema wadde yafuna dda omusajja omulala, Kenzo agamba nti akyali mukwano gwe nnyo.

Mungeri y’emu n’okulaga nti musajja wabuvunanyizibwa, Kenzo asobodde okuteeka ekifaananyi kya muwala we Aamaal Musuuza ku mukutu gwe ogwa Face Book nga ‘Profile Picture‘ sabiti ezigenda mu bbiri (2) okukyeyambisa okujjukira obulungi n’omukwano gwa nnyina Rema.

Kenzo wadde yeyita Pulezidenti wa Laavuniga Semyekozo, obubonero bulaga nti musajja alina laavu era Rema wadde yamulekawo, alaga nti akyamwetaaga mu bulamu bwe.