Poliisi mu Kampala ekutte abagwira bana (4) bannansi ba Rwanda ku by’okusangibwa ne ndaga muntu y’eggwanga mu ngeri emenya amateeka.

Mungeri y’emu n’omukozi mu kitongole ekivunaanyizibwa ku kuwandiisa abantu mu ggwanga ekya National Identification and Registration Authority (Nira) naye akwattiddwa Poliisi ku misango gy’okwenyigira okuwa abagwira Densite y’eggwanga.

Bannansi ba Rwanda 4 bakwattiddwa Poliisi n’abagwira abalala kyokka Poliisi egaanye  okwatuukiriza amannya gaabwe.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, abagwira okufuna ndaga muntu mu ngeri emenya amateeka kikyamu ddala kuba kisobola okuviirako ebyokwerinda by’eggwanga okutataganyizibwa.

Mungeri y’emu agambye nti abasirikale mu kitongole ekya Special Investigations Division (SID) batandiise okunoonyereza ku bassentebbe b’ebyalo abateeka emikono ku biwandiiko okulaga nti abagwira bannayuganda abalina okufuna Densite.