Poliisi n’ebitongole ebikuuma ddembe mu disitulikiti y’e Wakiso bikutte abantu babiri (2) ku mmundu eyazuuliddwa nga yabiddwa ku musirikale w’ekitongole ky’amakkomera mu disitulikiti y’e Mpigi.

Emmundu yabibwa ku musirikale nga 21, october, 2019 era kigambibwa yali ku ssimu ng’ali ku WhatsApp.

Wabula, yazuuliddwa akawungeezi k’olunnaku Olw’okubiri mu nsiko, mita 3 okuva ku tendekero lya Poliisi e Bwebajja ku luguudo lwe Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso.

Okusinzira ku mwogezi w’ekitongole ky’amakomera, Frank Baine emmundu ezuuliddwa wabula bakyanoonyereza abantu abagitwala okuva ku musirikale waabwe.

Ate omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango agambye nti addumira Poliisi y’e Kajjansi Apollo Kyangungu, yakulembeddemu okutuuka mu kifo emmundu weyasangiddwa era yasangiddwa ng’ezingiddwa mu kiveera n’amasasi 28.

Onyango agamba nti Poliisi, etandiise okunoonyereza ku nsonga eyo.