Ekiyongobero kibuutikidde abatuuze mu Tawuni Kanso y’e Nakasongola omuyimbi abadde yeegulidde erinnya bw’afudde, oluvanyuma lw’omusirikale, okumukuba amasasi.

Kelvin Mutebi abadde yeeyita Sida Man, nga mutuuze ku kyalo Kansirye, yakubiddwa amasasi mu ssaawa 5 ez’ekkiro, Poliisi bwe yabadde enoonya omutemu, eyatemyetemye abantu 4 mu Tawuni Kanso y’e Nakasongola olunnaku olw’eggulo akawungeezi ssaako n’okulawuna ku nsonga y’ebyokwerinda.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Savannah, Caroline Akoth, abasirikale baayimiriza Sida Man nagaana, era yabadde adduka, omu ku basirikale naamukuba amasasi.

Amangu ddala, baamuddusiza mu ddwaaliro ly’amaggye e Bombo, gyafiiridde enkya ya leero.

Poliisi egambye nti eguddewo omusango gw’obutemu ku nfa ya Sida Man n’okunoonyereza lwaki yabadde agezaako okudduka nga Poliisi emuyimiriza.

Sida Man waafiridde, abadde omu ku bayimbi abalangiddwa okuyimba ku Rhino Hotel e Nakasongola nga 14, December, 2019.

Olunnaku olw’eggulo, Omutemu yasse abantu 4 okuli Lozio Matovu 90, Judith Odur 38, Amos Sekanja 7 n’omwana, ategerekeseeko erya Mawanga myaka 10, mu katawuni k’e Wabigalo mu ggombolola y’e Wabinyonyi era yabatemye ne jjambiya.