Omuyimbi Grenade alaze nti ddala musajja w’abakyala ku myaka emito.
Grenade agamba nti alina emyaka 22 kyokka ali mu ntalo z’abakyala ab’enjawulo olw’okutambuza waaya ye mu vuvuzera ez’enjawulo.

Grenade abadde nnyo mu mawulire ku bigambibwa nti ali mu laavu ne Nnalongo w’omugenzi AK47, Maggie kyokka sabiti ewedde amawulire gaafuluma nti yaliko mu kibuga Dubai ne Eddy Kenzo ssaako ne Harmonize okuva mu ggwanga erya Tanzania nga bakola ebikyamu mu Hotero kuba bonna baasula mu kisenge kimu.

Okuva olunnaku olw’eggulo ku Lwokuna, waliwo ebifaananyi ebyasasaanidde ku mikutu gya yintaneti ne ‘FACEBOOK’ nga Lydia Jazmine ali Grenade kyokka tekimanyiddwa oba bikadde.
Wabula bangi ku bannayuganda bagamba nti kirabika Jazmine atandiise okunoonya omusajja oba Grenade okunoonya omukyala kuba akooye abakyala abakadde ku myaka gye.

Okusinzira ku kifaananyi, Grenade yalaze nti alina esannyu olwa Jazmine okumukkiriza okukwata ku mubiri gwe kuba yabadde amwambalidde olugoye olulaga ethambi lyonna.


Mu Uganda, bangi ku bawagizi b’omuyimbi Kenzo, bagamba nti omuntu waabwe yandibadde aleeta Jazmine okudda mu bigere bya Rema Namakula kuba naye mukyala alabika bulungi, ayimba bulungi ate kirabika ategeera kye bayita omukwano wabula bwe kiba kituufu nti Jazmine ayagala Grenade, kiraga nti Kenzo bamukutte mu liiso.