Abadigize bawuniinkiridde omuyimbi Recho Rey bw’alinye ku siteegi okuyimba, ng’ayambadde akagoye okulaga buli kimu.


Recho Rey y’omu ku bawala abato abeegulidde erinnya mu kukuba omuziki ennaku zino olw’ennyimba ze omuli Guma Bakunyige, Bwogana, Olimba, Who is she n’endala era alina abawagizi bangi nnyo n’okusingira ddala abavubuka.

Bwe yabadde ku kivulu ekimu, Recho Rey yalinye ku siteegi ng’ali mu kawale, akaleega, akagoye akalinga akatimba ke yeesuliddeko n’asibako omusipi mu lubuto era bangi ku badigize baasigadde beewunya.

Omu ku bawagizi omuvubuka atateegerekese mannya nga yabadde kumpi ne siteegi yagambye nti, “omwana ng’anyirira nnyo, omukazi anyirira y’alagika mu bantu, nze nkubuulira Recho Rey talina kirwadde kyonna kuba alabika bulungi nnyo, era nze bwe nkalya sikutta“.

Wakati ng’ayimba, waliwo amaloboozi agaavudde mu bavubuka okuva emabega nga bagamba nti, “yalabi omwana atulaze obutako obukadde“.

Ekifaananyi kya Bukedde