Omuyimbi Gravity Omutujju alangiridde mu January wa 2020 okukyala mu maka ga bazadde ba mukyala we Sharuwa Nakanyike e Nansana.
Nakanyike yakazaalira Gravity abaana babiri (2) era bawangadde mu bufumbo bwabwe emyaka 8.

Gravity agamba nti alina okugenda okukyala mu bazadde ba mukyala we kuba talina kulinda byatuuka ku Eddy Kenzo, mukyala we Rema Namakula okufuna omusajja omulala Dr. Hamza Ssebunya.