Abasajja abana (4) kkooti y’amaggye e Makindye besingisiza emisango gy’obutemu, bonna basindikiddwa e Luzira okuttibwa nga batugibwa.

Banno okuliko Bob Anichan eyadduka mu magye ga UPDF, Dennis Mangusho nga naye yaliko munnamaggye, Stanley Mulunda amanyikiddwa nga Jumba Frank nga mutuuze we Masanafu ssaako ne Issa Ntale amanyikiddwa nga Ganja ng’avuga bodaboda.

Bonna 4 benyigira mu kutta Harriet Nalwadda ne Moreen Nakabuubi nga baakubwa amasasi nga 10, Ogwomukaaga, 2019, abatemu ne batwala ssente obukadde 6 n’emitwalo 80 (6,800,0000) e Zzana ku luguudo lwe Ntebbe.

Mu kkooti, abalamuzi musanvu (7) nga bakulembeddwamu Lt General Andrew Gutti, bagambye nti abavunaaniddwa, batta abakyala ne batwala ensimbi zaabwe ne baleka famire nga bali maziga ag’oluberera.

Nalwadda omu ku battibwa, yaleka abaana babiri (2) okuli ow’emyaka 2 n’emyaka 5.

Mungeri y’emu kkooti egambye nti abavunaaniddwa, baludde nga benyigira mu kubba ssaako n’okutta abantu, nga balina okubaggya mu bantu.

Mu kiseera kino, abasajja 4 abasindikiddwa e Luzira, balindiridde olunnaku, lwe bagenda okuttibwa nga batugibwa.

Oluvudde mu kkooti, famire z’abagenzi, basiimye kkooti y’amaggye, esobodde okutekawo embeera okufuna amazima n’obwenkanya.