Kyaddaki omuyimbi Lydia Jazmine yewunyizza okukitegeera nti eyali bba wa Rema Namakula Eddy Kenzo yazaalibwa ku ssekukulu nga 25, December, olunnaku lwe bazaala Mukama waffe Yezu Kristu.

Jazmine asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa Instagram okwewuunya kuba Kenzo yazaalibwa ku lunnaku lwe lumu ne muyimbi munne Rickman eyakuyimbira ‘Bango’ era abaagalizza amazaalibwa amalungi, “So You Guys Decided To Share The Same Birth Date With My Jesus Christ? Happy Birthday To My Good Friends @eddykenzo @rickmanmanrick Enjoy Your Day Guys. Blessings!“.

Ebigambo bya Jazmine biraga nti musanyufu olwa mukwano gwe Kenzo okuzaalibwa nga 25, December era alaga nti musajja wanjawulo nnyo ku basajja abalala omuli ne bba wa Rema, Dr. Hamzah Ssebunya.

Mu Uganda, bangi bagamba nti Jazmine mukyala wa Kenzo era mbu bali mu laavu kyokka tewali alina bukakafu wabula, awali omukka tewabula muliro!