Omuyimbi Rema Namakula n’eyali bba Eddy Kenzo bawangudde engule y’omwaka 2019 olw’abantu okubalonda nti beetise omwaka 2019 ku mikutu gyonna egy’amawulire.

Omwaka 2019, tegubadde mwangu eri Kenzo ate Rema agufunyemu ebirungi kuba asobodde okufuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya gwe yayanjula mu bazadde nga 14, November, 2019.


Ku nsonga eyo, omusasi waffe abaddeko mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo okuwayamu n’abantu ku kisaawe ky’okuyimba mu mwaka 2019.
Bangi ku bantu mu Kampala bagambye nti Hamzah okunyakula Rema ku Kenzo, beetise omwaka 2019 ku laadiyo, TV, empapula z’amawulire, obutabo bw’amawulire n’emikutu gya ‘social media’ n’okusingira ddala ogwa Face Book.

Bagamba nti mu Uganda mulimu abayimbi bangi kyokka Rema ne Kenzo befuze amawulire mu mwaka 2019 era bombi bawangudde engule y’omwaka.