Abawagizi ba Rema Namakula mu kisaawe ky’okuyimba ate nga mikwano gye, gitabukidde Eddy Kenzo ku nsonga z’omwana waabwe Aamaal Musuuza.
Sabiti eno, Aamaal yajjaguza okuweza emyaka 5 era Rema ne bba Hamzah Ssebunya baamukoledde akabaga n’okumutwala okumukubisa ebifaananyi.

Olwe ssannyu, Rema yatadde ebifaananyi bya muwala we ku Instagram era yagambye nti, “This day every year gives me chills…anxiety.. excitement…joy and happiness all because of you mama wange. Happy 5 my love. To the moon and back my little lady.”

Amangu ddala, Kenzo yasobodde okuggya ekifaananyi kya muwala we ku Instagram ya Rema okukiteeka ku Face Book ye era nagaamba nti, “Happy 5 mama wange nasigaza kulaba mubifananyi nga bantu balala naye mukama yasinga okumanya and blood is thiker than water. Love you Aama“.

Wabula mikwano gya Rema giwadde ensonga ez’enjawulo lwaki Kenzo tagwanidde kuweebwa mwana wadde alina ssente nga basinzira ku bubuka bwa Kenzo ku Face Book era bagambye nti……