Omu ku bawagizi b’omuyimbi Rema Namakula musanyufu nnyo olw’engeri omuyimbi we (Rema) gy’akwatamu ensonga z’obufumbo bwe wakati mu kusomoozebwa.

Omwana 2019, Rema yasuulawo eyali bba omuyimbi Eddy Kenzo kuba yali afunye omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya okumunazaako amaziga agaali mu bufumbo bwa Kenzo.

Oluvanyuma lwa Rema okugenda ne Dr. Hamzah, ebigambo byatandikirawo okusasaana mu bannayuganda nti Rema ali lubuto lwe yafunira mu nnyumba ya Kenzo e Sseguku.

Nga 14, November, 2019, Rema yayanjula bba Dr. Hamzah mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka era bangi ku bantu abageenda ku mukolo, baali besuunze okulaba olubuto lwa Rema.

Werutukidde olwaleero nga Rema embeera ze, ziraga nti tali lubuto, akola mirimu gye omuli okuyimba era ategese konsati nga 14, Febwali, 2020 ku Hotel Africana mu Kampala okukyamula abawagizi be.

Ku nsonga eyo, omuwala Rickie Nabacwa ku Face Book, asiimye Rema kuba akutte bulungi ensonga y’okubuzabuza abantu era yeewunyizza ebigambo by’abantu abaali bagamba nti Rema ali lubuto. Rickie ne gye buli eno akyebuuza olubuto lwalagawa?, “But rumours, oba wea did de pregnancy go, wama my no1 diva keep on confusing these lunatics“.