Munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats ebikudde ekyama ku bikwata ku bulamu bwe oluvanyuma lw’okulangirira nti alina akawuka akaleeta mukenenya ku nkomerero y’omwaka oguwedde ogwa 2019.

Omwaka 2020, Mc Kats agutandikidde mu ggiya okulaga bannayuganda nti musajja wanjawulo nnyo wadde mu kiseera kino omubiri gunafuye olw’obulwadde.

MC Kats asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulangirira nti mu Africa yonna, ye mugagga omuto asinga era abantu be balina okukitegeera obulungi, “Am Africa’s Richest Kid DNT say I didn’t tell you my pple“.

Ebigambo bya MC Kats biraga nti y’emu ku nsonga lwaki mukyala we omuyimbi Fille Mutoni myaka 28 tasobola kumusuulawo kuba alina ssente.
Mu nsi yonna, teri mukyala ayagala musajja mwavu n’okusingira ddala basereebu kuba balina okwekuumira ku mulembe eri abawagizi.

 

View this post on Instagram

Am Africa's Richest Kid DNT say I didn't tell you my pple

A post shared by MC KATS (@mckatsug) on