Kyaddaki Dr. Hamzah Ssebunya y’omu ku bantu abali mu ssannyu mu kiseera kino oluvanyuma lw’okufundikira emisomo.
Dr. Hamzah bba w’omukyala omuyimbi Rema Namakula y’omu ku bayizi abatikkiddwa ku yunivasite y’e Makerere ku matikkira ag’e 70 agatandise enkya ya leero okutuusa ku Lwokutaano nga 17, Janwali, 2020.

Hamzah y’omu ku bayizi abafunye diguli mu busawo era ffe tugamba nti tukwagaliza ebiseera by’omu maaso ebirungi.
Wabula omu ku mukwano gwa Rema agaanye okwatuukiriza erinnya lye agambye nti okuva ku Ssande, Rema abadde mu kwetekateeka okutekateeka akabaga, okukulisa bba Dr. Hamzah emisomo.

Mungeri y’emu agambye nti Rema ne bba bakaanya okuzaala oluvanyuma lwa Hamzah okufundikira emisomo era ekiddako okuva n’ekiro kya leero, kunoonya mwana kuba Rema tanaba kuzaalira Hamzah wadde ebintu alya.