Poliisi mu Kampala ekutte omusajja omu ku by’okuwamba n’okutta omwana Dylan Kirabo myaka munaana (8) ku kyalo Luwafu mu Divizoni y’e Makindye.

Ku Lwokuna akawungeezi nga 9, Janwali, 2020, Dylan yali atumiddwa ku dduuka okugula obunzaali kyokka abatemu ne bamuwamba ne bamutta era omulambo gwe gwazuulibwa ku Lwokutaano nga 10, Janwali, 2020 okumpi n’awaka nga gusuuliddwa mu kiyumba ekitanaggwa bulungi.

Okusinzira ku taata wa Dylan, Hakim Sebukyu, Kirabo, omwana abadde muyizi ku Kampala Junior Academy-Najjanankumbi.

Wabula amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti Poliisi ekutte Mutyaba Banda ku by’okuwamba n’okutta Dylan abayambeko mu kunoonyereza.