Kyaddaki munnamawulire Joseph Tamale Mirundi alagudde ku muntu ayinza okudda mu bigere bya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ng’omukulembeze w’eggwanga lino.
Mu kiseera kino, waliwo abantu ab’enjawulo abegwanyiza entebe y’obwa Pulezidenti omuli Dr. Kizza Besigye owa Forum For Democratic Change (FDC), John Patrick Amama Mbabazi, Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, Dr. Abde Bwanika owa People’s Development Party, (PDP) n’abalala.
Mirundi yaliko omuwabuzi wa Pulezidenti Museveni ku nsonga z’ebyamawulire agamba nti Abaganda balina obusobozi okuwangula obwa Pulezidenti naye basukkiridde enkwe n’enjawukana.
Bw’abadde ku NBS TV mu Pulogulamu One On One with Tamale Mirundi enkya ya leero ku Lwokubiri, agambye nti eggwanga lya Bakiga mwe mugenda okuva omuntu agenda okudda mu bigere bya Pulezidenti Museveni kuba tebalina njawukana ate babeera beeyagaliza.
Ebigambo bya Tamale Mirundi biraga nti mu kulonda kwa 2021, Omuganda talina ssuubi kuwangula bwa Pulezidenti wadde bangi balina entekateeka okwesimbawo okusindikiriza Pulezidenti Museveni.