Omwana myaka 13 asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala ku misango gy’okusobya ku mwana munne.

Omwana amannya gasirikiddwa, asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Yasin Nyanzi era yegaanye emisango gyonna egimuguddwako.

Omulamuzi amusindise ku limanda e Naguru mu Remand home gye basibira abaana ng’alina okudda mu kkooti, nga 30, January, 2020.

Okusinzira ku ludda oluwaabi, omwana nga mutuuze ku kyalo Busukuma mu disitulikiti y’e Wakiso, nga 6, August, 2017 ng’asinzira ku kyalo Nabitalo mu disitulikiti y’e Wakiso, yasobya ku mwana munne omuwala myaka 7 egy’obukulu.

Okusinzira ku ssemateeka wa Uganda singa omwana emisango gimusinga ayolekedde okusibwa emyaka egisukka 5 mu kkomera ly’abaana e Kampiringisa.