Poliisi egamba nti ekyanoonyereza ku kizimbe kya Kalina ekyagwa e Kansanga nga kiri ku musingi, okumpi n’essomero lya Kansanga Secondary School, ettaka ne libutikkira abantu era mukaaga (6) ne bafa.
Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abakwasaganya eby’okuzimba mu kitongole ki KCCA bakyalina okunoonyereza okuzuula ekyavaako omusingi okuyiikamu ne gutta abantu.

Mungeri y’emu Poliisi ezudde omugagga nnanyini kizimbe nti ye Umar Katongole kyokka mu kiseera kino aliira ku nsiko ne yinginiya eyali akwasiddwa omulimu gw’okuzimba Kalina.

Kinnajjukirwa nti sabiti ewedde, oluvanyuma lw’omusingi okuyiikamu, abantu mu bitundu bye Kansanga bategeeza nti ekizimbe kya Eddy Kenzo era mbu alabiddwako emirundi mingi mu kifo ekyo n’okusingira ddala obudde obw’ekiro ng’akirambula.

wabula Poliisi okuvaayo, kiraga nti abawagizi ba Kenzo abamwagaliza ebirungi baswadde kuba ekizimbe kitegerekese bulungi nnanyini nti ye Katongole.

Eddoboozi lya Onyango