Kyaddaki munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats alangiridde omuwendo gw’abaana abatuufu gw’alina mu bulamu bwe.
Mc Kats yabadde wa Pasita Wilson Bugembe okutegeeza abantu nti alina emyaka 36, abaana mukaaga (6) kyokka awangadde ne siriimu emyaka 13.

Mc Kats yabadde addukidde wa Pasita Bugembe, okusangulawo obulimba bw’abantu nti yagudde eddalu era mbu yabadde atwaliddwa mu ddwaaliro e Butabika, okufuna obujanjabi mu bwangu.

Agamba nti ye musajja mulamu bulungi era abantu bonna omuli ne Poliisi balina okukomya okumunoonya kuba kimulemesa okweyagala nga munnayuganda n’okutambuza obulungi emirimu gye.

Vidiyo ya MC Kats ku nsonga zonna