Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Stella Amabirizi alabudde singa omubaka omukyala owe Kabarole Sylvia Rwabogo anaalemwa okweyanjula mu kkooti, omwezi ogujja ogw’okubiri, emisango gyonna egivunaanibwa Brian Isiko gigenda kumugibwako.

Isiko nga muyizi ku YMCA ettabi lye Jinja ali ku misango ebbiri (2) omuli okukozesa bubi kompyuta bwe yali aweereza omubaka Rwabwogo obugambo obukwana emirundi egiwerako.

Olunnaku olw’eggulo, omubaka Rwabogo teyabadde mu kkooti era okusinzira ku bannamateeka be, yabadde yakadda mu ggwanga nga yabadde mu mukoowu.

Wabula omulamuzi agambye nti Omubaka Rwabogo alina okudda mu kkooti nga 3, omwezi ogujja Ogwokubiri, era singa yebulankanya, Isiko wakugibwako emisango gyonna.