Poliisi ekutte omusajja ng’avuga bodaboda ku by’okusangibwa n’ebintu by’amaggye mu ngeri emenya amateeka.

Paul Mugerwa nga mutuuze ku kyalo Kiganda Zzooni mu Divizoni y’e Kawempe mu disitulikiti y’e Kampala yakwattiddwa nga mu kiseera kino ali ku Poliisi y’e Kawempe.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, Luke Owoyesigire, Mugerwa yakwattiddwa abasirikale ku kampani ya Paniafrica Company Limited e Kawempe bwe yabadde agenze okusaba omulimu kyokka yabadde ayambadde ‘chain” y’amaggye emanyikiddwa nga ‘Dog Tag’.

Ku Poliisi, Mugerwa yagambye nti ‘Dog Tag’ eri mu mannya ga munnamaggye Deo Nandyaka yagironda bulonzi mu bitundu bye Kawempe, Poliisi kwe kumulagira, bamunoonyerezeeko mu misango egyekuusa okusangibwa n’ebintu by’amaggye.