Omuyimbi Eddy Kenzo asobeddwa eka ne mu kibira olwa Rema Namakula eyali mukyala we, okulaga nti munyiivu nnyo oluvanyuma lw’okwawukana.
Rema yasuulawo Kenzo omwaka oguwedde ogwa 2019 era mu mwaka gwe gumu, yafuna omusajja omulala Dr. Hamzah Ssebunya, gwe yayanjula mu bazadde nga 14, November, 2019.


Rema yali yakazaalira Kenzo omwana omu Aamaal Musuuza Malaika era mu kiseera kino omwana ali naye mu bufumbo bwa Hamzah.

Wabula Kenzo alaze nti alumwa kuba akyalemeddwa okufuna omukisa gwonna ogwogerako ne Rema mu mbeera yonna.

Kenzo ali mu kuteebereza nti Rema ayinza okuba yanyiiga oba ng’akyali mu ‘Honeymoon’ nga zezimu ku nsonga lwaki tewali mpuliziganya mu kiseera kino.
Mungeri y’emu agambye nti embeera eriwo, emulemeseza n’okwogerako ne muwala we kyokka byonna asazeewo abiwe obudde.

Kenzo era agambye nti singa Rema amuyita mu konsati ye, nga 14, February, 2020 ku Africana Hotel ku Valentine, tewali kubusabuusa kwonna, alina okubaayo.

Ebigambo bye, biraga nti ku mutima anyolwa olwa Rema okugenda, okumulemesa okwogera n’omwana we era kirabika asaba kisonyiwo bw’aba yamusobya.

Eddoboozi lya Kenzo