Bya Nalule Aminah

Poliisi y’e Nagalama ekutte ssemaka kubigambibwa nti aliko omwana gwe yakubye olugalo myaka 4 mu bitundu by’ekyama.

Nakabaale Muhammud myaka 40 yakwattiddwa era mu kiseera kino ali ku misango gy’okujjula ebitanajja.

Okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Oweyesigyire, Nakabaale abeera ne mukyala we ssaako n’omuwala Kawala Maria myaka 18.

Poliisi egamba nti Kawala alina omwana myezi 4 kyokka omwana abadde asukkiridde okulwala ekyawaliriza maama okumutwala ku Poliisi, oluvanyuma yatwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa.

Mu ddwaaliro, alipoota y’abasawo eraga nti omwana yakulusanyizibwa ebitundu by’ekyama era kigambibwa omuntu yakozesa olugalo oba ekintu ekirala.

Oweyesigyire agamba nti abatuuze batandikiddewo okulumiriza Muhammud okwenyigira mu kikolwa ekyo, ekyawaliriza Poliisi okumukwata natwalibwa ku Poliisi y’e Nagalama era mu kiseera kino okunoonyereza kugenda mu maaso.

Eddoboozi lya Luke