Kyaddaki omuyimbi Fille Mutoni ayogedde amazima ku mbaga ye ne bba Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats.

Gye buvuddeko, Mc Kats yalangirira nti alina akawuka akaleeta siriimu era awangadde n’obulwadde emyaka egisukka mu 13.

MC Kats oluvanyuma yategeeza nti agenda kukuba mukyala we Fille embaga nga 14, February, 2020 ku lunnaku lwa Valentayini.

Wabula Fille yewunyisizza abantu bw’ategezezza nti talina kyamanyi ku bya MC Kats okumukuba embaga ku Valentayini nga 14, February, 2020.

Fille agamba nti, “kakati mwe yabasuubiza embaga, nze sikimanyiiko, alabika yabasuubiza naye nze sikimanyiiko, eno 14th y’eriko embaga! hahahahahaha, nedda mbadde sikimanyi”.

Mungeri y’emu Fille era agambye nti ye mwetegefu okuwagira MC Kats mu mbeera yonna kuba mukwano gwe nnyo ate taata wa mwana we.