Kyaddaki munnamawulire Edwin Katamba amanyikiddwa nga Mc Kats asabye abantu okumuyamba kuba akooye okunywa sigala mu bulamu bwe.
Kats agamba nti asobodde okweyambisa ebintu eby’enjawulo okumuyambako okukomya okunywa sigala kyokka bikyagaanye ate nga ye akooye okunywa.

MC Kats agamba nti, “nina obuzibu njagala kuva ku sigala, alina obuyambi bwonna obuva ku sigala temumpa Nicotine Gum ye mukozeseza annumya amannyo, abantu abali e Bulaaya, munfunire Nicotine Sellotape, asobola ozimpa yenna yenna nyamba zinfunire, eno mu Uganda baziseera, asobola annyamba naye mbegayiridde nsaba busabi“.

Mu kiseera kino Mc Kats ali ku ddagala eriweweeza siriimu era kigambibwa yafunye okuwabulwa okuva mu basawo okwesonyiwa sigala kuba ayinza okuba ayongedde okukosa obulamu bwe.

Sabiti ewedde, bwe yabadde mu Kkanisa ya Wilson Bugembe e Nansana, yagambye nti alina emyaka 36 era awangadde n’obulwadde emyaka egisukka mu 13.