Poliisi mu disitulikiti y’e Bugiri etandiise okunoonya omutemu akubye Imaamu Sheikh Masudi Mutumba amasasi agamutiddewo.
Imaamu Mutumba bamuttidde mu makaage ku kyalo Iwemba mu ggombolola y’e Iwemba mu disitulikiti y’e Bugiri ku ssaawa 3:45 ez’ekiro kya leero ku Valentayine.

Okusinzira ku mubaka wa Palamenti akiikirira munisipaali ye Bugiri munnamateeka Asuman Basalirwa, “abatuuze bagamba nti omutemu alumbye Imaama Mutumba mu makaage, okumukuba amasasi agamuttiddewo naye Poliisi etandiise okunoonyereza“.

Ate omwogezi wa Poliisi mu bitundu bya Busoga East James Mubi, akakasizza okuttibwa kwa Imaamu Mutumba era agambye nti Poliisi etandiise okunoonyereza.

Mu kiseera kino omulambo gwa Imaamu Mutumba gukyali waka mu kifo webamukubidde ebyasi.