Poliisi etandiise okunoonyereza ku basajja abaakwattiddwa, akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwokusatu nga 19, Febwali, 2020 ku by’okutaataganya Palamenti.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Patrick Onyango, abasajja abaakwattiddwa kuliko Charles Mutaasa Kafeero mutuuze we Namasuba ne Sekanjako Dafala musuubuzi w’omu Kampala.

Onyango agamba nti Kafeero ne Sekanjako, okubuuka okuva mu Kabanyi ka Palamenti, abantu babuligyo gye bakirizibwa okutuula okwekeneenya ebigenda mu maaso mu Palamenti ne bagenda wansi bateeseza, baguddwako emisango esatu (3) omuli ogw’okusaalimbira mu Palamenti, okwonoona ebintu bya Palamenti n’okutaataganya emirimu gya Palamenti.

Mungeri y’emu agambye nti abakwate bategeezeza nti baavudde mu kabinja ka ‘Red Brigade’ era Poliisi yabwe enkesi, atandiise okunoonyereza, lwaki baalumbye Palamenti n’okuzuula omuntu ayinza okuba nga yabatumye.

Onyango era agambye nti essaawa yonna, abakwate bakutwalibwa mu kkooti ku misango egibaguddwaako. Olunnaku olwaleero oba enkya ku Lwokutaano, fayiro zaabwe zakusindikibwa eri omuwaabi wa Gavumenti.

Kafeero ne Sekanjako mu Palamenti nga bakola efujjo,  bategeezeza nti bali ku mulimu gwa kulwanyisa nguzi era baasudde ebiwandiiko ebiraga nti Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ekyalemeddwa okugirwanyisa.