Okutya kweyongedde mu ggwanga erya China olw’abantu abeyongedde okufa nga kivudde ku ssenyiga owa coronavirus okweyongera okweriisa enkuli.

Webukeeredde enkya ya leero, ng’abantu 76,600 bebalwadde mu nsi yonna nga China yokka erina abalwadde 62,442.

Ate abaakafa mu nsi yonna bali 2,247 nga China, bakola ebitundu 95 ku buli 100.

Okusinzira ku Minisitule y’ebyobulamu mu ggwanga erya China, buli lunnaku abantu beyongera okulwala ssaako n’okufa ng’olunnaku olw’eggulo baazudde abantu 411 nga balwadde ate 115 beebafudde.

Minisitule era efulumizza omuwendo gw’abantu abazze bafa buli lunnaku mu 30 ezakayita okutuusa olunnaku olw’eggulo.

Sabiti ewedde ku Lwokubiri nga 11 baafa – 100, Lwokusatu nga 12 – 250, Lwokuna nga 13 – 121, Lwokutaano nga 14 – 143, Lwomukaaga nga 15 – 142 ate ku Ssande nga 16 – 106.

Ku Mmande nga 17 – 98, Lwokubiri nga 18 – 136, Lwokusatu nga 19 – 114 ate olunnaku olw’eggulo ku lwokuna nga 20 – 118.

Abantu 11 beebakafa okuva ensi endala 29 ate abalwadde 1,200.

Ezimu ku nsi ezirina coronavirus kuliko Australia abantu 17, Canada 9, Germany 16, Japan 704, Singapore 85, outh Korea 156, America 26 n’ensi endala.