Poliisi y’e Katwe eyimbudde omusajja eyali yakwatibwa ku by’okuwamba n’okutta omwana Dylan Kirabo myaka 10 e Makindye.

Kirabo yabula nga 8 omwezi oguwedde ogwa January bwe yali atumiddwa ku dduuka, jjajja we okukima obunzaali.

Nga wayise ennaku 2, omulambo gwe gwazuulibwa mita 500 okuva awaka ku kyalo Sendagala – Luwafu nga gusuuliddwa mu kiyumba ekitanaggwa.

Oluvanyuma Poliisi yakwata omu ku batuuze Mutyaba Banda ku misango gy’okutta omwana nga kivudde ku batuuze okumulumiriza nti yalabwako okumpi n’ekiyumba, awasangibwa omulambo gwa Kirabo.

Mutyaba yatwalibwa ku Poliisi y’e Katwe era Poliisi nesuubiza abatuuze okunoonyereza abantu bonna abenyigidde mu kutta omwana.

Wabula bukya akwatibwa, Poliisi tefunaanga bujjulizi bwetagisa kumutwala mu kkooti ku misango gy’obutemu.

Ku nsonga eyo, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti Mutyaba yayimbuddwa kakalu ka poliisi kyokka okunoonyereza ku kyagenda mu maaso.

Mu ngeri y’emu agambye nti mu kiseera kino, tebalina muntu yenna mu kkomera ku misango gy’okutta Kirabo wabula Poliisi ekyanoonyereza, abatemu abaali mu kikolwa ekyo, bakwatibwe.