Edwin Katamba amanyikiddwa nga MC Kats alaze lwaki Manejja Jeff tasobola kutwala nnyumba y’omuyimbi Sheebah Kalungi esaangibwa e Munyonyo.

MC Kats agamba nti Jeff ne Sheebah bayinza okuba balina obutakaanya naye tewali ngeri yonna eyinza kuwaliriza Jeff kutwala oba Okutunda ennyumba ya Sheebah.

Mungeri y’emu Kats agamba nti abadde ne Jeff emyaka egisukka 15, amutegeera bulungi nnyo ng’omusajja omulungi ate yewaayo okuyamba Sheebah okuyimusa talenti ye mu kisaawe ky’okuyimba. Kats agamba nti Jeff alina ssente era talina mutima mubi guyinza kutwala nnyumba ya Sheebah era tayinza kubba.
Agamba nti Jeff ayagala ekintu kimu, Sheebah okumusasulira obudde bwe.

Okuva ku ntandiikwa y’omwezi guno Ogwokubiri, ebigambo bibadde byogerwa ku mikutu gya yintaneenti nti Sheebah yafunye obutakaanya ne Jeff era mbu Jeff ayagala kutwala nnyumba ya Sheebah kuba mbu eri mu mannya ge nga ne poloti weeri, eri mu mannya ge.

Mu kiseera kino, abawagizi ba Sheebah abeegatira mu kibiina ekya Shebaholics basobeddwa eka ne mu kibira kuba tebamanyi kituufu ku nsonga z’omuyimba waabwe ku bikwata ku nnyumba.

Vidiyo ya MC Kats

View this post on Instagram

A post shared by MC KATS (@mckatsug) on