Omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road, Olga Karungi alangiridde nga 24 omwezi ogujja Ogwokusatu, okuwa ensala ye ku nsonga esabiddwa bannamateeka ba Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyikiddwa nga Bobi Wine, akikirira abantu be Kyadondo East mu Palamenti ne banne, abali mu kkooti mu kwewozaako.
Bobi Wine avunaanibwa ne banne okuli; mukulu we Fred Nyanzi, Julius Katongole, David Lule ne Edward Ssebuufu (Eddy Mutwe) emisango gy’okukuba olukungaana mu ngeri emenya amateeka bwe baali bawakanya omusolo gwa OTT ku bantu bonna, abeyambisa emitimbagano.
Okwekalakaasa kwaliwo nga 11, Ogwomusanvu, 2018 era oludda oluwaabi, lugamba nti Bobi Wine yalemererwa okukolagana n’ekitongole ekya poliisi okulaba nga abagenda okwetaba mu lukungaana bafuna ebyokwerinda.
Enkya ya leero, bannamateeka be nga bakulembeddwamu Anthony Wameli, bategeezeza nti bagala kwebuuza mu kkooti etaputa ssemateeka okulaba oba emisango egibavunaanibwa gy’abaggulwako mu mateeka oba nedda era omulamuzi Karungi kwe kulangirira 24 omwezi ogujja Ogwokusatu, okuwa ensala.