Poliisi mu ggwanga erya Nigeria mu kibuga Lagos atandiise okunoonyereza ku ssemaka akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.

Abdul Lateef Mustapha myaka 38 yakwattiddwa ku by’okusobya ku mwana wa ssenga we ali mu gy’obukulu 17.

Mustapha akwattiddwa Poliisi erwanirira eddembe ly’abaana eya Child Protection Agency era atwaliddwa okutandiika okwewozaako.

Ku Poliisi, omwana agambye nti Mustapha abadde amusobyako mu kiseera nga mukyala we ali ku mulimu.

Mu kibuga Lagos, Mustapha y’omu ku bannadiini abagundivu abebuzibwako ensonga z’obuyisiraamu era okukwatibwa ku misango gy’okusobya ku mwana omuto, bangi ku bakulembeze mu ddini n’abagoberezi, basigadde basobeddwa.