Ekiyongobero, kibuutikidde abatuuze ku kyalo Railway Cell mu Monisipaali y’e Kasese, omwana omwaka gumu n’emyezi 3 bw’agudde mu kinnya kya kazambi nafiiramu.

Sunday Mbusa kati z’embuyaga ezikunta era okusinzira ku kitaawe Lauben Thembo, mutabani we yagudde mu kinnya nga yakamala okulya ekyemisana akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo era yabadde atambuddemu okuzannyako ne banne.

Agamba nti banoonyeza omwana nga talabikako okutuusa lwe yasangiddwa nga yafiiridde mu kinnya kya kazambi.

Poliisi eyingidde mu nsonga okunoonyereza era akulira Poliisi y’oku kitundu Aggrey Kampere asabye abatuuze okusigala nga bakakamu, Poliisi okunoonyereza engeri omwana gye yagudde mu kinnya kya kazambi.

Ate omwogezi wa Poliisi ku kitebe kya Poliisi e Kasese Vicente Twesige agambye nti omulambo gukwasiddwa abazadde okutekateeka okuziika.