Kampuni y’ebyokunywa eya Crown Beverages Limited efulumya ssooda omuli Pepsi, Mirinda, Mountain Dew n’eby’okunywa ebirala ezzeemu okutta omukago ne UEFA Champions League okutwala bannayuganda okulaba empaka za Champions League n’okuwangula ebirabo eby’enjawulo.

Ku mulundi guno, kampeyini eteekeddwamu Biriyoni 1.2 era egenda kutambula okutuusa ku fayino za Champions League.

Okusinzira ku Mr. Timothy Luzinda akulira obwa kitunzi mu Crown Beverages Limited (CBL), ku mulundi guno, bakasitoma baabwe bagenda kuwangula ebirabo eby’enjawulo omuli Airtime, shirts, obukofiira, amassimu, laadiyo, ssooda ne ssente 500,000/= buli sabiti.

Ate Paddy Muramiirah akulira Crown Beverages Limited, omuntu yenna okuwangula, alina okugula ssooda eccupa ya Pepsi, 300ml, ekirabo kiteekeddwa wansi chokolo ng’oyinza okufuna ekirabo ku Dipo ya Pepsi mu kitundu kyo oba okusindiika obubaka obuli wansi wa Chokolo ku 7888.

Kampeyini yonna egenda kulagibwa ku NTV ne Bukedde TV buli Lwakusatu.