Omuyimbi Eddy Kenzo alaze lwaki teyeguya kugenda kwa Rema Namakula eyali mukyala we wadde yali yamuzaalamu omwana.
Rema mu November wa 2019, yayanjula Dr. Hamzah Ssebunya mu bazadde e Nabbingo ku lwe Masaka oluvanyuma lw’okusuulawo Kenzo.
Mu kiseera kino Kenzo talina mukyala amanyikiddwa kyokka oluvanyuma lwa Rema okugenda, alina ennyimba 2 omuli ssemyekozo ne Tweyagale, okulaga nti ye alina kusanyusa bannayuganda, okugenda kwa Rema tekulina kumuggya ku mulamwa ng’omuyimbi.

Kenzo asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okwongera okuwa abawagizi be essannyu n’okulaga nti Rema okugenda bibaawo mu baagalana era agambye nti, “Nze Nesiga mukama katonda. Ebisigadde byansi“.

Mu luyimba lwa Kenzo, Tweyagale era yayimba ebigambo ebiraga nti eby’ensi bya kufa kuleka era agamba nti “Nze eno ensi tenemazaamu, Dunia tenemazaamu, Tenkozesa bintu bikyaamu, Seguya mwanadamu, Kuba abamu muli bakyaamu, Eh muli bakyaamu, Nze ndiwo kubeera nice“.

Mu luyimba, Kenzo alaga nti wadde talina mukyala mu kiseera kino, ng’omusajja omulala yenna, alina esuubi okufuna omukyala omulala okudda mu bigere bya Rema era agamba nti, “Kuba kati yeffe abaliko, Yeffe value yeffe symbol, No matter oba ndi single, One day ngya kubeera double, Ah wah mi do lemme do let’s do, Signal kyusa zikube mu nju, If yah nuh ready onayita mmanju, Bali tubaleke badde mu juuju, Ffe tulye mboona, nsugga na nsujju, Tukube verse nga ziri mu bire“.