Kyaddaki omuyimbi Kiggundu Bruno amanyikiddwa nga Bruno K awadde ensonga 3 lwaki munnamawulire Faridah Nakazibwe owa NTV myaka 35 nti mukyala wanjawulo nnyo ku bakyala abalala mu ggwanga Uganda.

Enkya ya leero, Bruno K abadde ku Pulogulamu ‘Mwasuze Mutya‘ ku NTV ne Nakazibwe era bw’abadde ayogera ku nsonga z’omukwano, alaze nti waliwo omukyala eyamulekawo n’afumbirwa omusajja omulala era y’emu ku nsonga lwaki yakoowa abawala abalungi ennyo n’abawala abato.

Mungeri y’emu Bruno K awadde ensonga 4 lwaki Nakazibwe mukyala wanjawulo nnyo era agambye nti, “Nakazibwe oli mukyala mugezi nnyo, osikiriza, olina amagezi ate oyambye abantu bangi nnyo“.

Mungeri y’emu agambye nti wadde muvubuka muto, yakoowa abawala abato kuba tebamanyi kye bagala.

Bruno K amanyikiddwa mu Uganda olw’ennyimba ze omuli Wanimba, Wonder Woman, Ntaawa, Madams n’endala.