Munnamawulire wa NTV Faridah Nakazibwe atabukidde omuyimbi Kiggundu Bruno amanyikiddwa nga Bruno K mu Pulogulamu ‘Mwasuze Mutya‘ enkya ya leero.
Mu Uganda, ebigambo bibadde byogerwa nti Bruno K ali mu laavu ne Faridah kyokka tewali muntu yenna alina bukakafu.
Wakati mu Pulogulamu, Bruno K agambye nti yaliko mu laavu kyokka omukyala yamulekawo n’afumbirwa omusajja omulala era y’emu ku nsonga lwaki yakoowa abawala abalungi ennyo n’abawala abato.

Bw’abadde ayogera ku muwala omutuufu gw’alina okuwasa, Bruno K agambye nti, “toyinza kubeera awo nga tewegomba muntu nga Faridah ng’oli musajja kuba olabika bulungi“.

Wabula abadde akyayogera okuwa abantu lwaki buli musajja yegomba Faridah, ebintu tebimutambulidde bulungi kuba Faridah amulemesezza okweyongerayo era amugambiddewo wakati mu Pulogulamu nti, “nze saagala bya kumpaana“.

Bruno K alaze nti atidde nnyo era asirise omulundi gumu, Faridah nakwata amassimu.