Omumyuka wa ssentebe wa NRM okuva mu Buvanjuba bw’eggwanga, Capt. Mike Mukula alabudde omuyimbi Joseph Mayanja amanyikiddwa nga Dr Jose Chameleone okwesonyiwa eby’obufuzi kuba eggwanga likyamwetaaga mu kisaawe ky’okuyimba.

Gye buvuddeko, Chameleone yalangirira nti 2021 alina okwesimbawo ku bwa Loodi meeya bwa Kampala kuba alina obusoobozi.

Wabula Capt. Mukula agamba nti Chameleone singa ayingira eby’obufuzi asemberedde okwawulamu abawagizi be mu kisaawe ky’okuyimba ekiyinza okumukosa mu byenfuna.

Mungeri y’emu agambye nti Chameleone musajja mulungi mu bya talenti, yandibadde asigala mu kisaawe ky’okuyimba okwongera amaanyi mu kuvuganya Diamond Platnumz owa Tanzania ne Davido owa Nigeria.

Mukula asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, agambye nti Chameleone mukwano gwe nnyo ng’abadde alina okumuwabula.