Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II asiimye musajja we omuyimbi Mesach Ssemakula olw’okuyimba ennyimba ezizimba eggwanga omuli okubakubiriza okwekolera ssente.

Kabaka bw’abadde ku mukolo gw’okujjaguza amazaalibwa ge ag’emyaka 64 ku Ndejje SSS mu Bulemeezi, yasiimye abantu abasukka mu bataano (5) era omuyimbi Ssemakula yekka yeyafunye omukisa ogwo.

Kabaka
Kabaka

Ku mukolo, Ssaaabasajja yasabye abantu okukola ennyo okusobola okulwanyisa obwavu kuba ssente teziva ku mukeeka.

Omulangira Richard Ssemakookiro nga agabula Obuganda Keeki y’amazaaalibwa ga Kabaka wakati mu ssannyu okuva mu nnamungi w’omuntu.