Essanyu libuutikidde abatuuze webasse abantu 2 mu bitundu bya Kampala eby’enjawulo abaludde nga begulidde erinnya mu kubba ne batwala ebintu eby’enjawulo.

Omu ku babbi bamutidde Kabusu mu Divizoni y’e Rubaga ate omulala mu zzooni ya Mulimira e Kamwokya nga busasaana enkya ya leero.

Omubbi attiddwa e Kabusu tamanyikiddwa nga tasangiddwamu kiwandiiko kyonna ate e Kamwokya, attiddwa ye Jimmy abadde amanyikiddwa nga Lumba.

Abatuuze okutta we Kabusu, ye ne banne balumbye omu ku batuuze nga baagala okubba wabula akubye enduulu, era basobodde okumuzingako ne bamutta, banne ne badduka.

Ate e Kamwokya, okusinzira ku mutuuze Ivan Ssemwogerere, Lumba abatuuze bamusse bwe yabadde agezaako okumenya okubba omu ku batuuze.

Ester Birungi, omu ku batuuze abaasimatuse okubibwa bw’abadde awayamu naffe agambye nti musanyufu nnyo olwa babbi abaludde nga batigomya ekitundu kyabwe, okuttibwa.

Patrick Onyango mu Kampala

Ate Patrick Onyango, omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, avumiridde eky’abatuuze okutwalira amateeka mu ngalo.

Onyango agamba nti abatuuze okutta omuntu yenna, kiremesa ebitongole ebikuuma ddembe okunoonya obujjulizi nga n’emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Omwaka 2019, Poliisi yafuna emisango 636 egyabantu abattiddwa olw’okutwalira amateeka mu ngalo ate mu 2019 746.

Ate Poliisi wamu n’abatuuze bazudde emirambo gy’abaana aboluganda abagudde mu River Kibaale mu disitulikiti y’e Rakai ku Lwokusatu.
Bino byabadde ku kyalo Lulala mu ggoombolola y’e Kifamba era abagenzi kuliko John Makumbi myaka 20 ne Kizito Ssendikadiwa era bonna babadde bagenze kuwuga.

Omaru Luwondela, 13, kafulu mu kuwuga agamba nti yasobodde okutasaako omuntu omu wabula mikwano gye gyombi yalemereddwa.
ASP Muhammad Nsubuga, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Masaka agamba nti emirambo giwereddwa aba famire okuziika.
Mungeri y’emu alabudde abazadde okufaayo ennyo ku baana baabwe.